Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba okwakolebwa bannamateeka b’omuwagizi wa NUP Yasin ssekitooleko amanyiddwa nga Machete nga basaba akkiriizibwe okuwoza nga ava bweru. Omulamuzi Andrew Khaukha agubadde mu mitambo agambye nti tayinza kuwulira musango guno okujjako nga guzeemu neguwaabwa nga guyita mu mitenedera gya kkooti ezaabulijjo, so ssi kusimbulizibwa butereevu okuva mu kkooti y’amaggye.