Emivuyo mu kamyufu ka NRM: Omubaka David Kabanda ayitiddwa ku poliisi

Olive Nabiryo
0 Min Read

Omubaka wa Kasambya David Kabanda, olwaleero alumaze ku poliisi y’e Mityana era tukitegeddeko nti abadde akola sitatimenti ku mivuyo egyeyoleka mu kunoonya akalulu k’okulonda kw’akamyufu ka NRM omwezi oguwedde.

 Akavuyo kano kaalimu okwokya mmotoka z’omu ku baali bavuganya Kabanda Henry Muhumuza, n’omuntu eyakubwa amasasi mu kugulu.

Kyokka abaserikale ba poliisi bakifudde kizibu eri bannamawulire okukwata ebibadde bigenda mu maaso nga n’abamu bakakiddwa okusimuula bye babadde bakutte.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *