Abasuubuzi abeegattira wansi w’ekibiina ki KACITA baagala gavumenti yeyambise akalembereza kano kebaabawadde bakole ku nsonga zaabwe zonna ezaabadde zibaleetedde okwesulamu jjulume ne baggala amaduuka ku lw’okubiri lwa sabiiti eno. Akola nga akulira abasuubuzi bano Issa Ssekitto agambye nti balina essuubi nti ssaabaminisita Robina Nabbanja wakweyambisa omwezi ogumu gweyabasabye okudda n’enkyenkomeredde naddala ku nsonga y’emisolo egyituuse okubagoba mu busuubuzi. Tukitegedde nti ku lwokubiri lwa sabiiti ejja,ssabaminisita wakubategeeza ekyasaliddwawo ku bagwira abalejjesa ebyamaguzi mu kampala.