Abantu abasoba mu nkumi bbiri ku byaalo okuli Kapaapi ne Kiganja mu district ye Hoima negyebuli eno bakyakonkomadde nga tebanazzibwa ku ttaka lyabwe eriweza yiika 908 lyebagobwako munnamagye Brigadier General Peter Nabasa Akankunda mu mwaka gwa 2023. Minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja ng’enaku zomwezi 15 ogwomusanvu omwaka guno yalagira bano bazzibwe ku ttaka lino.