Ekitongole ekikola ku by’eddagala ki National Drug Authority kiyimirizza okukozesa eddagala eriweweeza ku kirwadde ky’omutima erimanyiddwa nga Calcium Gluconate . Okusalawo kuno abakugu bakwesigamizza ku kizuula nti eddagala lino lirimu obusejjasejja obuyinza okulabwa n’amaaso, kale nga kino kiyinza okulifuula ely’obulabe eri abalwadde. Bino bigenze okubaawo nga obucupa 12,000 bwe bwaakagabwa mu mwaliro ag’enjawulo mu ggwanga lyonna.