Omubaka wa Kasambya David Kabanda, olwaleero alumaze ku poliisi y’e Mityana era tukitegeddeko nti abadde akola sitatimenti ku mivuyo egyeyoleka mu kunoonya akalulu k’okulonda kw’akamyufu ka NRM omwezi oguwedde. Akavuyo kano kaalimu okwokya mmotoka z’omu ku baali bavuganya Kabanda Henry Muhumuza, n’omuntu eyakubwa amasasi mu kugulu. Kyokka abaserikale ba poliisi bakifudde kizibu eri bannamawulire okukwata ebibadde bigenda mu maaso nga n’abamu bakakiddwa okusimuula bye babadde bakutte.