Abakugu mu ndwadde z’obwongo batubuulidde nti ebitundu 54 ku buli kikumi ku bakyala abali mu makomera g’e Uganda batawanyizibwa endwadde z’obwongo. Bano bagamba nti embeera abakyala bano gyebawangaaliramu,y’ebamalako e mirembe okukakana nga bafunye ekikyamu ku bwongo. Mungeri y’emu bano baagala eteeka likyukemu omuntu asangibwa ng’agezaako okwetta aleme kuvunaanibwa wabula ajjanjabwe.