Abantu babiri beebakakasiddwa okuba nga baafiiridde mu mazzi agaayanjaalidde mu luguudo mu disitulikiti y’e Bulambuli nga bano baabadde bagezaako okuwagaanya okuyita mu mazzi gano. Abaafudde kuliko omuvuzi wa boda boda, gwetutegedde nga Ronald Walimbwa kwossa Moses Musamali, eyabadde amuyambako okuyita mu mazzi gano. Olw’amataba gano abantu tebakyasobola kusala kuva mu Bulambuli Upper okudda mu Bulambuli lower.
