Ttiimu ya Senegal yatuuse mu ggwanga egullo ku saawa nnya nga b’etegeka okwambalagana ne Uganda ku lwomukaaga mu mpaka za CHAN. Uganda yakuba Senegal 1-0 mu mpaka eziwede newankubadde baamala ne bwangula ekikopo ky’omulundi ogwo, kyoka era uganda yaddamu n’ebakuba gole 2-1 mu mupiira gw’omukwano ng’empaka z’omwaka guno tezinatandiika. Omuzannyi wa Cranes Patrick Kakande agamba nti b’etegefu okukwaata Senegal.